Amawulire

Ente 1000 ezaali zabbibwa zinunuddwa

Ente 1000 ezaali zabbibwa zinunuddwa

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ente 1000 zezinunuddwa okuva mu mikono gyababbi, okuviira ddala mu August womwaka guno 2021 mu disitulikiti ye Napak mu gombolola ye Lotome.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Mt Moroto nga ye Mike Longole agambye nti ente zino zibadde zisangibwa mu muluka gwe Kodonyo, Natapar ne Akwangan ngoluvanyuma lwokuzibba eno gyebababaddenga bazikweka.

Kati abanatu babulijjo bayitiddwa okwetaba mu kwekebejja ente zino, okuzuula bannayini zo abatuufu.

Wabula poliisi enenyezza nnyo abakulembeze ne banabyafuzi, olwokukuma omuliro mu bantu nga bawakanya entrekateeka zabakuuma ddembe okulwanyisa obubbi bwente mu kitundu kino.