Amawulire

Ensimbi z’okusasula aba LDU zibuze.
Bya Moses Kyeyune
Ekiragiro kya pulezidenti eky’okutondawo ejje ekuuma byalo elya LDU kyandiba nga kiri mu lusuubo, nga kino kidiridde amajje okulemwa okufuna obuwumbi 70 obw’okusasula abakuuma byalo bano.
Kino ekyama kibotoddwa minister omubeezi akola ku by’okwerinda Bright Rwamirama bwabadde alabiseeko eri akakiiko akakola ku nsonga z’omunda mu gwanga, kko nebyokwerinda , nga basaba ensimbi ezinaakola mu budget ya 2019/2020.
Rwamirama agambye nti ensimbi obuwumbi 1800 bwebagenda okuweebwa mu budget eno tekuli zaba LDU, kale nga kino kireesewo okwelalikirira
Okusinziira ku ngabanya aba LDU bano beetaga ensimbi obuwumbi 9 bwakukola ku musaala, obuwumbi 14 bwakukola ku byakwambala, songa obuwumbi 49.3 bwakukola ku mere yabakuma byalo bano, naddala bano abagenda okukuuma mu Kampala.