Amawulire

Ennongosereza z’ebyokulonda baziwakanyizza

Ennongosereza z’ebyokulonda baziwakanyizza

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Prosy Kisakye

Abatakabanira enfuga eyamateeka bawakanyizza obumu ku buwayiro obwajidde mu nnongosererza ezayanjuddwa mu mateeka gebyokulonda.

Munnamateeka akulira ekitongole kya Center For Constitutional governance Sarah Birete ayogedde ku buyinza eri akakiiko kebyokulonda okulambika ebifo ebironderwamu, awatali kwebuuza ku banatu abalala abakwatibwako.

Ono awakanyizza nekiteeso okuwera abakozi ba gavumenti, mu byobufuzi.

Birete asabye abantu bonna okuwakanya enongosereza zino, kubanga zirina bezigenda okunyigiriza.

Kati bingi ebyajidde mu nongosereza zino, okuli ebibiina byobufuzi obutakolagana na bisinde mu byobufuzi, aboludda oluvuganya gavumenti bwebawakanyizza.

Mu biralala abagenda okuvuganya ku bukulembeze mu nnaku 14 nga baakawandisibwa baakulaga gyebajja ssente okunoonya akalulu, abebyokwerinda baakulondanga mu nnaku 5 ngokulonda okwawamu tekunabaawo.

Tewali anavuganyanga nga namunigina, oluvanyuma lwokuwangulwa mu kalulu kakamyufu.

Mungeri yeemu akulira ekitongole ekirera eddembe lyabanamawulire, ekya human rights network for journalists Uganda Robert Ssempala alayidde okuwakanya ekyokuwera camera namasimu agakwata ebigenda mu maaso, mu kifo awalonderwa.

Agambye nti bagenda kuwandikira palamenti bawe endowooza yaabwe, nga bawakanya enongosereza zino.