Amawulire

Enkola ya Gavt empya ku basomesa yeralikiriza abé Makerere

Enkola ya Gavt empya ku basomesa yeralikiriza abé Makerere

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abakulu kuttendekero lya Makerere University beralikiridde ku kyabayizi abasoma obusomesa ku course eyemyaka 3 kye bagenda okukola oluvanyuma lwa gavt okuvaayo nenkola eya National Teachers’ Policy.

Okusinzira kunkola eno abayizi bonna abasaba okuyiga obusomesa mu mateendekero bakutwalanga emyaka 4 nga basoma okutandika nomwaka guno.

Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa basomesa abava mu mawanga gali mu buvanjuba bwa African e Makerere, akulira akola kunsonga zábayizi bano, Dr. Elizabeth Kyazze agambye nti ettendekero lyawadda ebifo abayizi ku course ya myaka 3 kati tebamanyi kyakukola.

Mu kubanukula minisita owebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo, agambye nti gavt yakwevumba akafubo balabe ekyokukola.