Amawulire

Enjatika e Buduuda

Ali Mivule

May 13th, 2014

No comments

land slides

Nga enkuba ekyagenda maaso n’okufudemba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, abali mu bitundu omubumbulukuka ettaka bali mu bweralikirivu.

RDC wa district ye Bududa shiraku James agamba baatandise dda okulaba enjatika mu bitundu bye Busiiyi era n’alabula abatuuze abali mu bifo bino okubyamuka.

Agamba bakyalina ekizibu ky’ettaka webagenda okuzza abatuuze abanava awabumbulukuka ettaka nga n’abamu bakyagaanye okwamuka ebitundu bino.