Amawulire

Embaga ya Lady Titie Yabadde ya Kyama

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Olunnaku olwe ggulo, ngenkumi nenkumi zabalamazi beyiwa ku biggwa byabajulizi okulamaga okujjukira abajulizi ba Uganda e Namugongo okunyweza okukiriza kwabwe mu Katonda, yye Omuyimbi Tendo Tabel amanyiddwa nga Lady Titie yabadde akuba birayiro okufumbirwa.

Ono yagattiddwa nomusubuzi we Masaka Tadeo Sserunjoji nalayira okubeer mukyala we, embaga eyabadde mu kanisa ya Masaka Pentecostal Church (MPC) kinnya na mpindi nekikeesa- Club Ambiance.

Eno abategesi tebaganyizza munnamwulire yenna kwetaba ku mbaga eno, nga bagamba nti teyabadde ya muyererero, wabula ebifananyizi nebyabadde ku mbaga eno byatandise okusasasnira ku mitimbagano gya Yintaneti

Abamu ku betabye ku mbaga eno absobodde eokutuka munda, bategezezza nti omuyimbi wa Kadongo Kamu Kazibwe Kapo Best Man.

Kati ekyewunyisa Titie ngera mukozi ku NBS TV neku CBS Radio e Mengo bwatukiriddwa ku lukomo lwe ssimu okubaako kyayanukula ajjeeko essimu obutabaako kyayogera.

Kadde kokka, buli kimu kimala nekibikkulwa mu musana, era bwekyabadde bano bakubye ebirayiro mu maaso ga Rev. Samuel Mukulusi.

Embaga ebadde yabadde ya kimpukumpuku, mu ssaaawa ntono, ababdde bawulidde ku bigenda mu maaso mu kanisa bagenze okutuuka nge’mbaga yawedde dda nga nabagole tebabangawo.

Kati olwauvudde mu kkanisa nebolekera ku Brovad Hotel gyebekubirizza ebifananyi oluvanyuma nebolekera ku woteeri emu yokka mu Kabuga ke Kalisizo emanyiddwa nga Nabisere gyebakunganyirizza abagenyi baabwe abalondemu.

Kati guno gubadde mulundi gwa kubiri nga Lady Titie alayira nti okuleka okufa kwekulitwawukanya.

Ono yoomu mu mwaka gwa 2010 yafumbirwa Denis Katongole amanyiddwa nga Katongole Omutongole ngono mukozi ku Beat FM neku Delta TV wabula bayawukana omwaka oguwedde, nga kigambibwa obufumbo bwali kwatakwata oba embirigo ezitaggwa era nebasalawo buli akwate gage.