Amawulire
Empologoma 6 zisangiddwa ng’anfu
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekirera aobutonde bomu ttale, Uganda wildlife Authority bavumiridde ne ssekuvumirirra yenna ekitta bisolo byomu nsiko ekirabika okuba nga kyeyongedde.
Kino kyadiridde okutibwa kwemologo 6 mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park, nga waliwo okutebereza nti zino baaziwa butwa.
Emplologoma zino bazisanze nga zafudde, nga nebimu ku bitundu byazo byajiddwamu nebitwalibwa.
Kati omwogezi wekitongole kya UWA Bashir Hangi agambye kino tekikom kukosa byabulambuzi naye kikedeeza neku musolo ogudda mu gwanika lye gwanga.
Yeyamye nti bakwongeramu amaanyi okulwanyisa omuze guno.