Amawulire

Empaka za Olympics zigibwako akawuuwo

Empaka za Olympics zigibwako akawuuwo

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2021

No comments

Bya BBC,

Omukolo ogugulawo empaka ze mizannyo gya Olympics ezigenda okuyindira mu kibuga Tokyo ekya Japan gutandise.

Kyo ekibuga Tokyo kiri mu kaseera akobwerinde okulaba nti emizannyo gino gigwa mirembe wakati mu mbeera ye kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Bbo bannansi mu ggwanga lya Japan bazzenga bapeeka gavt okuyimiriza empka zino okutuusa ngekirwadde kya covid-19 kikendedde

Kino gavt teyakiwuliriza oluvanyuma lwa bategesi bempaka zino okulaga obumalirivu nokukakasa nti ebyokwerinda bya bazannyi biri gguluggulu, nga tebakkiriza bawagizi bonna mu kisaawe songa nabeetabye mu mpaka bokka basoose kwekebejebwa.

Bano bateredwako nobukwakulizo obulala omuli okwambala obukokolo akadde konna, ne birala

Uganda nayo yakikiriddwa mu mpaka zino na bazannyi 25