Amawulire

Emorimor yafudde talina lubiri

Emorimor yafudde talina lubiri

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti esomozeddwa nti okukulakulanya obukulembeze obwenono, kitekebwe ku birubirirrwa byegwanga.

Okusaba kuno kukoleddwa, akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathius Mpuuga, palamenti bwebadde etude okusiima nokukungubagira Emorimor Augustine Papa Osuban.

Mpuuga agambye nti bangi negyebuli kati tebanasasulwa olwebyobugagga ebyatwalibwa, gavumenti eya wakati.

Agambye nti gavumenti esaanye okubaga entekateeka eyanamaddala, nembalirira okuliwa eri obukulembeze obwenono.

Yye omubaka wa Kilak Kenneth Ongalo-Obote akukulumidde gavumenti nti kya nnaku, omukulembeze waba-Teso Emorimor yaydde talina lubiri.

Omubaka Obote agambye nti gavumenti yandibadde eraga obumalirivu bwayo, okuwagira obukulembeze bwenono.

Omugenzi, okutuusa okufa abadde akolera mu maka ge.

Omugenzi agenda kuzikibwa wiiki ejja.