Amawulire

Emmotoka 14 zezatokomokedde mu kubwatuka kwa bbomu

Emmotoka 14 zezatokomokedde mu kubwatuka kwa bbomu

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Gavumenti nebitongole byobwanakyewa ebiralala, saako abantu ssekinoomu kati bali mu kufirwa okwamaanyi, ebintu byabwe bwebyatokomokedde mu kubwtauka kwa bbomu mu kibuga.

Awamu emmotoka 14 okuli eza gavumenti nabantu ssekinoomu zezayononekedde mu kubwatuka kwa bbomu 2 mu kibuga Kampala.

Emmotoka za gavumenti 5 zezayonese, nga kwabaddeko eza kalisoliiso wa gavumenti 2, eza poliisi 3, nendala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Oweyisigirye agambye nti emmotoka 7 zayonokedde ku CPS, 3 zabadde za poliisi ate 4 zabadde zabasirikale nebirala.