Amawulire

Emmere ekolebwa mu makolero ga kuno ebbulamu ebiriisa

Emmere ekolebwa mu makolero ga kuno ebbulamu ebiriisa

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Okunonyereza okukolebwa kulaze nti emmere esinga ekolebwa wano mu ggwanga terina biriisa birungi okusinzira ku nnambika ye kitongole ekirondoola omutindo gwe bintu.

Alipoota eno efulumiziddwa ekibiina kya Uganda consumers’ protection Association nga kiri wamu nába spina bifida.

Bano okunonyereza kwabwe bakukola wakati womwezi ogwo 5-6 2019 okwetoloola eggwanga lyonna ne bakizuula nti amakampuni agakola akawuunga gabulamu okuteekamu ebirungo ne bitundu 50.8% ate abakola engano bali ku bitundu 89.9% ate ababuto bali 93.3%

Teresa Nannozi omu kubafulumiza okunonyereza kuno wano wasabidde amakampuni agakola emmere obutabba ba kasitoma bateekemu ebiriisa ebyetaagisa mu mmere gyebakola.

Ate ye avunayizibwa kukukakasa ebikolebwa mu kitongole kya UNBS, Vincent Kasozi agambye nti amakampuni amatonotono gegasinga obutagoberera biragiro mu kukola emmere

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *