Amawulire

Emizimu gyábafa Covid gisattiza ab’enganda

Emizimu gyábafa Covid gisattiza ab’enganda

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Daily Monitor

Akakiiko akalwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe mu disitulikiti eye Budaka kasobeddwa ekyokuzako oluvanyuma lwokufuna amawulire nti abeganda za bantu abafa ekirwadde kya covid batandise okuzikula emirambo gya bantu babwe egyazikiibwa abobuyinza babaziike ku biggya byabwe basobole okubawa amaziika amalungi.

Okusinzira ku lupapula lwa Daily Monitor abaenganda za babagenzi bazzenga balajanira abaobuyinza e Budaka okubawa emirambo gyabantu babwe kuba emizimu gyabwe giluluma nti bazikibwa bubi balina okudamu okubaziika obulungi.

Omubaka wa gavumenti atuula e Budaka Tom Chesol, akakasiza amawulire gano nagamba nti abatuuze bazuukuka matumbi budde ne bagenda bazikula e mirambo mu limbo ne bagitwala okudamu okugiziika.

Chesol agamba nti emizimu gyabaafa gigamba nti engeri abagenzi gavt gyebaziika mu buveera bubokya mu ttaka gye bali.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *