Amawulire

Emisolo bagyongeza

Ali Mivule

June 14th, 2013

No comments

Minister Maria Kiwanuka

Minister w’ebyensimbi Maria kiwanuka afulumiza embalira ya busirivu 13 ,ey’omwaka 2013/2014, ng’omusolo oguva munda mugwanga gwakukola ebitundu 81%.

Minister Maria Kiwanuka ategezeza nti ebyefuna by’egwanga mu mwaka oguwedde bikulidde kumisinde jja bitundu 5.1% byogerageranya ne bitundu 3.2% mu mwaka ogwayita.

Ate yo ebaayi y’ebintu yeyongedde okuka okutuuka ku bitundu 6.8% . Esiira omwaka guno ligenda kutebwa ku bulimi,eby’obulamu eguudo, namasanyalaze, ebeera zabakozi, ebyentambula wamu n’ebyenjigiriza.

Okudabiriza enguudo kuweredwa obuwumbi obusoba mu 2,395 era nga mu nguudo ezigenda okudabirizibwa mwemuli oluva e Mpigi okuda e Kabulasoke,ne maddu, oluva e Kabaale okudda e Kisoro, Jinja – Kamuli,Kawempe – Kafu nedala. Enguudo mu municipalities 14 omuli Arua, Jinja, Soroti n’endala zakuzimbibwa.

Kyo ekitongole kya KCCA kyakyongerwa ensimbi okudabiriza eguudo mu Kamapla.

Eby’obulimi beweredwa obuwumbi 394 era ng’esira lyakutekebwa ku kuyamba abalimi sekinommu.. Kyo ekitongole kya NAADS kidizidwayo mu ministry y’ebyobulimi.

Byo ebyenjigiriza biweredwa obuwumbi 1800 by’ebitundu 33% mu mbalirira yona. Esirra litekedwa ku masomo g’emikono, ensimbi y’abayizi ez’okwewola ziyite loan scheme,wamu n’ebibiina by’abasomesa eby’obwegasi.

Mu mbalirira eno Omusolo ku mafuta g’etaala, cegeretti, mobile money, betting , engano, motor third party gwongezebwa. Omusolo ku boda boda nagwo gwongezedwa.

Mukosoma embalira eno  omukulembeze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni asekeredde abagabi b’obulambi, abakendeeza obuyambi bwebawa  Uganda olw’’obukenuzi.

Museveni agambye nti baali tebamanyi bukodyo Uganda bwekozesa mu kulwanyisa abakenuzi.

Bo banabyabufuzi  abali ku ludda oluvuganya government bavumiridde bajetti eno.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Nandala Mafabi agambye nti ebalirira eno egenda kunyiga banaUganda.