Amawulire

Emisango gya Ssegirinya ne Ssewanyana bagyongezaayo

Emisango gya Ssegirinya ne Ssewanyana bagyongezaayo

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Olwaleero kooti ezeemu okulaba wa oludda oluwaabi werutuuse mu munoonyereza ku misango egivunaanibwa ababaka, Allan Sseanyana ne Muhammad Ssegirinya n’abalala abavunaanibwa okwenyigira mu kutta abantu e Masaka.

Shamim Malende ne Erias Lukwago bannamayteeka babaka bano, nabo balabiseeko Masaka.

Ssewanyana yeyanjudde eri kooti, ngasinziira mu kkomera e Kigo wabula Ssegirinya tasobodde kuberawo nga kigambibwa nti afuna obujanjabi.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lutegeezezza kooti nga bwerutanamaliriza kunoonyereza kwabwe era nebasaba kooti ebongere obudde.

Omulamuzi Christine Nantege yaasoose okwongezaayo omusango oguvunaanibwa Ssegirinya ne ssewanyana ogw’okutta Joseph Bwanika mu bitundu bya Kisekka mu Lwengo okutuuka nga 10 Novemba.

Wabula ssewanyana awanise omukono naamutegeeza nga bwali mu bulumi obutagambika olw’ebitundu bye eby’ekyama okuba nti biri mu mbeera mbi naasaba omulamuzi alagire ab’obuyinza mu makomera bamutwale wakiri afune obujangjabi.

Omulamuzi Nantege bwamalairizza, nomulamuzi Grace Wakooli naye naayingira ku misango omukaaga okuli Obutujju, okuvujjirira obutujju, okutta abantu 3 ku kyalo Setaala n’okugezaako okutta omuntu e setaala era Omuwaabi wa gavumenti amutegeezezza nti akyanonyereza naasaba obudde.

Omulamuzi Wakooli naye ayongezaayo omusango okutuuka nga 10 omwezi ogujja.