Amawulire

Emisango egyókukabasanya abakazi egyakolebwa mu Muggalo gifundikirwa mwezi guno

Emisango egyókukabasanya abakazi egyakolebwa mu Muggalo gifundikirwa mwezi guno

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekiramuzi kirina essuubi nti omwezi guno wegunaggweerako nga kimaze okuwulira emisango gyonna egy’okukabasanya abakyala na bawala egyetuuma mu kkooti oluvanyuma lwomuggalo gwa covid

Bino byogeddwa omulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija, bwabadde ayogerako eri abakwatibwako ensonga mu lukiiko lw’okuteesa ku bikolwa ebyokukabasanya abakyala na bawala olwekikula kyabwe olwatudde mu Kampala.

Yagambye nti emisango mingi egyakung’aanyizibwa mu kiseera ky’omuggalo oguva ku covid-19, kyokka okuwulira kwabwe kubadde kugenda mpola wabula emisango gino kati bagikulembeza nga omwezi guno we gunaggweerako gyonna gigyakuba giwedde.

Zeija agamba nti obwenkanya okulwawo kikosa ekitongole ekiramuzi kuba oluusi balemererwa okufuna obujjulizi mu misango gino olwaabo abatusibwako ebikolobero nabajjulizi okubigyamu enta nga balaba obwenkanya tebutuuka.