Amawulire

Emirimu gisanyaladde e Moyo- kwekalakaasa

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

fresh demos

Emirimu gisanyaladde mu tawuni ye Moyo oluvanyuma lw’abantu abasoba mu 1000 okukumba wakati mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’abakulembeze baabwe abaakwatibwa poliisi ya South Sudan wiiki ewedde.

Bano bakutte ebipande okuli obubaka obuvumirira ekikolwa kino olwo neboolekera ensalo mu kitundu kye Afoji .

Omubaka omukyaala ow’e Moyo Anne Auru nga y’akulembeddemu abeekalakaasi ,agamba baagala gavumenti eyingire mu nsonga zino emalewo okusika omugwa.

Balumbye n’emizinga gy’enjuki 10 gyebaagala okuteera abasudani nga batuuse ku nsalo babamalemu ejjoogo.

Wiiki ewedde poliisi  ya South Sudan y’akwata  bannayuganda abaali babala abantu ku kyaalo Gwere.