Amawulire

Emilimu gisanyaladde ku luguudo lwa kampala

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

business stalls in city

Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugugumbula abawagizi b’eyali akulira ekibiina kya Fdc Dr Kiiza Besigye

Besigye abadde ava ku kooti ya Buganda road gy’asomeddwa emisnago emiggya nga gyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro

Ono agaanye okubuuka mu mmotoka nga bw’alagiddwa poliisi era nga motoka ya poliisi eyitiddwa okukulula emmotoka ye.

Bino byonna bigenda mu maaso ku kizimbe kya Mabirizi Complex ku kampala road abantu gyebawalampye ebizimbe okulaba ekigenda mu maaso.

Emilimu n’ebyentambula bisanyaladde byansusso.