Amawulire

Embeera y’eddwaliro lye Kakabala yeralikiriza

Ali Mivule

May 22nd, 2017

No comments

 

Bya Magembe sabbiiti

Embeera  mu dwaliro  lya  gavumenti  elya  Kakabala  health  Center
111 eKyegegwa  eyungula  eziga  nga  abalwadde  bona  basuzibwa  mu
kasenge  kamu  akalimu  ebitanda  bitaano, ate nga akasenge omuzalira
abakyala  kalina ebitanda  bibiri  byoka.

Ssentebe  we gombolola  ye Kakabala  Lwakyaka  Abdulu  ategezeezza
nga  eddwaliro  lino  bwerikola  ku  balwadde  abasoba  mitwalo
mukaaga   .

buli  mwezi   abasawo  bazalisa  abakyala   abasoba  mu
nsanvu kyokka  nga  tebalina  webazalira  yadde  aw’okusula  kwossa
okubanga  abasajja  nabakazi , abalwadde  b’akafuba  n’abaana   basula
mu kasenge  kamu.

Omubaka  akikirira  ekitundu  kino  mu  palament  ekya  Kyaka  North
Asaba  Paul  agamba  nti  eddagala  eliwebwa  amalwaliro  eKyegegwa
terimala  nga  kyekiseera  ministry  ye  by’obulamu  okusumusa
eddwaliro  lino ssaako  ne lya  Kyegegwa  health  Center  1V
lifulibwe  eddwaliro ekkulu