Amawulire

Embalirira ya Buganda eyómwaka ogujja ya buwumbi 150

Embalirira ya Buganda eyómwaka ogujja ya buwumbi 150

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Samuel Ssebuliba,

Obwakabaka bwa Buganda butegeezeza nga bwe busuubira okuyisa embalirira ya buwumbi 150 mu mwaka gwe by’ensimbi 2022-2023 okuva ku buwumbi 121 obwaysibwa mu mwaka guno 2021-2022 oguggwako

Bino byogeddwa Omuwanika wa Buganda Owek Waggwa Nsibirwa bwabadde asisinkanye akakiiko ka Buganda ak’ebyensimbi, nga ogumu ku mitendera egyigobererwa mu kutekateeka embalirira.

Abuulidde abakungu abatuula ku kakiiko kano nti ebimu ku biteekeddwako omulaka kwekukyusa embeera z’abantu ba Buganda naddala mu nfuna yaabwe, eby’obulamu kko n’okwongera okunyweza ebyobulimi.

Owek. Waggwa agambye nti newankubadde eggwanika liyise mu kusomozebwa mu mwaka guno basobodde okukunganya ensimbi ezisoba mu zasomebwa mu mbalirira yomwaka guno oguggwako.