Amawulire

Ekyuukakyuuka mu basikiriza banaggagga zijja-Museveni

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

M7 meets ugandans in Diaposra

Pulezidenti Museveni agamba nti wagenda kubaawo enkyukakyuka ez’omuggundo mu kitongole ekisikiriza banaggagga mu ggwanga

Kino kigendereddwaamu kulaba nti bamusiga nsigo bakoma okubonabona n’obukwakkulizo obusukkiridde mu kutandikawo bizinensi.

Pulezidenti okwogera bino abadde asisinkanye bannayuganda ababeera emitala wa Mayanja mu kibuga Texas.

Pulezidenti agamba nti bataddewo emeeza ey’enjawulo egenda okukola ku bamusiga nsigo okuva ebweru mu minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga okulaba nti e bintu byanguwa

Agenze mu maaso n’ategeeza nga bwebalwaana okulaba nti bannayuganda abalina obutuuze ebweru ne wano bakoma okujjibwaako ensimbi

Asabye nebanasayansi abali ebweru okudda ewaka bakulakulanye eggwanga lyaabwe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *