Amawulire

Ekizimbe kikubye abantu

Ali Mivule

July 22nd, 2013

No comments

building collapses

Ekizimbe kiyiise nekikuba abantu mu kibuga wakati.

Ekizimbe ekiyiise kimanyiddwa nga Nice Times nga kiriraanye ekya Magoba ku Nakivubo mews.

Kigambibwa okuba ng’ekizimbe kino kibadde kiddabirizibwa ku myaliro gya wansi ekikinafuyizza nekiyiikamu.

E mulago omusasi waffe Shamim Nateebwa gy’ali, abantu bana beebakwatwalibwa mu ggwanika ate ng’abalala bakolebwaako.