Amawulire

Ekizimbe kibisse abantu

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

building collapses new

Ekizimbe kiyiise nekibikka abantu abasoba mu 10.

Ekizimbe kino kiri ku Shade Gardens a Mukono

Omubaka akiikirira abantu b’omu kibuga kye Mukono  Betty Nambooze agamba ekizimbe kino eky’emyaliiro 2 kiguddemu nekizikiramu abamu.

Ategezezza nga poliisi bw’egezaako okusikayo abakyawagamidde mu bifunfugu nga era abataasiddwa badddusiddwaa mu malwaliro agatali gamu.

Mu ngeri yeemu, ekitongole kya poliisi enzinya mooto kyasindise dda  ekibinja ky’abazinya mooto okwongera okusikayo abo abakyawagamidde mu bifunfugu.

Akulira ekitongole kya poliisi ekizinya mooto Joseph Mugisa ategezezza nga bwekitanategerekeka  oba waliwo afudde naye nga bakyagenda maaso n’okunonyereza ku kiki ekiviiriddeko ekizimbe kino okugwaamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *