Amawulire

Ekitongole ky’omusaayi kyakwewola

Ekitongole ky’omusaayi kyakwewola

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2019

No comments

Bya Sam Ssebuliba ne Ritah Kemigisa

Ekitongole kye ddagala mu gwanga, National medical stores kifunye obuwumbi 10 okugula ebutagisa okulongoosa nokukola ku musaayi oguliwo.

Kino kidiridde ebyafulumidde mu mauwlire nti waliwo ebbulya lyomusaayi mu ddwaliro ekkulu e Mulago ku cancer institute.

Kati bwabadde, ayogera ne banamwulire, akulira etterekero lyomusaayi, Dorothy Kyeyune agambye nti balina uniti zomusaayi emitwalo 3, wabulanga babadde tebanagulongoosa.

Kyeyune agambye nti obuwmbi 39 nobukadde 200 zezetagibwa, mu mwaka ogwebyensimbi guno okukola ku musaayi unit emitwalo 30.

Wabula obuwumbi 12 nobukadde 800 gavumenti zeyawa ekitongo kye ddagala mu mwaka ogwebyensimbi guno.

Ono wabula agambye nti gavumenti ddaki ebakiriza okugula ziyite reagents ku buwmbi 10 ku banja.

Ate ekitongole kya Uganda Red Cross Society ebbula lyomusaayi eririwo mu gwanga balitadde ku malwaliro agamu, agatunda omusaayi.

Bwabadde ayogegerera ku mukolo gwokutongoza etterekero e Makindye Ssabawandiisi wa Red CrossRobert Kwesiga agambye nti omusaayi tegulina, kutundibwa eri balwadde.

Ono agambye nti gulina kuweebwa buwa era nasaba abantu okufaayo, obutabbibwa.

Eno omubaka wa Makindye Ssaabagabo Emmanuel Ssempala, anenyezezza aba Uganda Blood Transfusion Service nti tebakoze kimala, okutuuka mu bantu okubajjamu omusaayi.