Amawulire

Ekitabo kya Museveni kikanze abakugu

Ali Mivule

May 8th, 2017

No comments

Bya Ivan ssenabulya

Abamu ku bakugu mu nsonga z’ebyobufuzi  bekengeddemu ekigendererwa kya pulezidenti Museveni okulagira minisitule y’ebyenjigiriza okutandika okugabira amassomero ekitabo ekirimu ebyafaayo bye ekimanyiddwa nga Sowing the Mastered Seed”

Pulezidenti Museveni agamba ayagala kulaba nga ayongera okunyweza mwoyo gwa ggwanga mu mu bannayuganda.

Kati omukugu  Prof Ndebesa  okuva ku yunivasite ye Makerere agamba ekitabo kino kirimu byafaayo bya Pulezidenti Museveni kale nga talaba ngeri gyekigenda kutumbula mwoyo gwa ggwanga mu bantu.

Wabula ye eyali omubaka wa pulezidenti nga era muwandiisi wa bitabo Cranma Kalinda agamab abantu tebasanye kuvumirira nga tebanasoma biri mu kitabo era bagyemu eby’obufuzi.