Amawulire

Ekiri mu Darfur kibi

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Darfur

Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte balagudde nti wandibaawo akavuyo akaggya mu kitundu kye Darfur nga kino kisangibwa mu Sudan.

Abantu abali mu mitwalo ataano beebagambibwa okuba nga tebakyalina webegeka luba era nga n’abakuuma ddembe bigaaniddwa okutuuka mu kitundu kino

Okulwanagana okusinga kuli wakati w’ebibinja bya bawarabu abatalima kambugu yadde ng’abayeekera n’amaggye ga gvaumenti nabyo tebirekeddwa mabbali.

Ekitundu kye Darfur kibaddemu okulwangana okuva abayekeera lwebasalawo okukwata emmundu mu mwaka gwa 2003.