Amawulire

Ekidyeeri kibbidde-300 tebalabikako

Ali Mivule

April 16th, 2014

No comments

ferry sinks

Ebikumi n’ebikumi by’abantu bakyabuze oluvanyuma lw’ekidyeeri kwebabadde okubbira.

Ekidyeeri kino kibaddeko abantu 459 ng’abasinga bayizi.

Biri mu ggwanga lya South Korea ng’abayizi bano babadde bava kulambula ku kizinga kye Jeju.

Bbo abaddukirize baatandise dda okutuuka mu kifo kino ng’enyonyi zi namunkanga n’emeeri byonna byatuuse dda okutandika okuyigga abo abakyabuze.

Amangu ddala ng’akabenje kano nga kaakaggwa, abantu abali eyo mu 290 babadde bakyabuze.