Amawulire

Ekibondo ky’ababbi mu gavumenti

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

Mulyagonja new

Kaliisoliiso wa gavumenti ategeezezza nga bwewaliwo ekibondo ky’abakozi ba gavumenti nga bano ogwaabwe kwakulya nguzi

Irene Mulyagonja agamba nti ekibinja kino kiyingidde minisitule ezitali zimu nga kikozesa amakubo ga takinologiya ow’omulembe okunyagulula eggwanga

Mulyagonja okwogera bino abadde atongoza enteekateeka emanyiddwa nga Strengthening Uganda’s Anti-Corruption Response  ng’eno gavumenti ya Bungereza y’egiwomyeemu omutwe

Mu nteekateeka eno, Bungereza mw’eyise okuwaauo obuwumbi 130 eri ebibiina ebirwanyisa enguzi okwongera okulwana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *