Amawulire

Ekanisa ya Basodookisi ekungubagidde omukulembeze wabwe

Ekanisa ya Basodookisi ekungubagidde omukulembeze wabwe

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekanisa ya basodokisi mu Uganda eyogedde ku mugenzi abadde ssabasumba we kanisa eno metropolitan Yonna Lwanga, ngomuweereza abadde omukozi enyo ate nga abadde nomukwano mungi eri buli muntu nga bakusigala bamusubwa.

Ssabasumba Lwanga yasiza okwenkomerero olunaku lweggulo mu kibuga Athens mu ggwanga lya Buyonaani oluvanyuma lwokutawanyizibwa ekirwadde kya Kokolo okumala ebbanga.

Ssentebe wakakiiko akakulira enzikkiriza eno mu Uganda Rev.Fr John Bosco Kibuuka, ategezeza bannamawulire ku kanisa e Namungona nti Ssabasumba Lwanga aweereza ekanisa ne ggwanga okutwaliza awamu mu magezi ne birowoozo ebizimba wakati mu buwombefu.

Fr. Kibuuka atubuulidde nti entekateka ezokuza omulambo gwomugenzi zigenda mu maaso ate olunaku lwenkya lwebasuubira okufulumya entekateeka entongole eyokumugalamiza ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Degeya – Bombo Luwero district.

Abamu ku bagoberezibe bamwogeddeko ngomusajja abadde omukulembeze omulungi.

Mungeri yemu Ekanisa ya Uganda esaasidde nyo bannabwe abekanisa ya basodokisi olwokufa kwa Ssabasumba Metropolitan Yonna Lwanga eyafudde olunaku lweggulo.

Omulabirizi we Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira akyaddeko ku kanisa ya basodokisi e Namungona nagamba nti gano mawulire mabi eri abekanisa ne bannauganda abagazi be mirembe.

Luwalira ayogedde ku mugenzi ngomusajja abadde omwagazi wemirembe ate omulwanirizi wa banaku.

Era amutendereza olwokwewaayo okulwanyisa obuli bwenguzi okuyita munjiriye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *