Amawulire

Etteeka ly’obufumbo bw’obuwangwa balitutte mu kooti

Etteeka ly’obufumbo bw’obuwangwa balitutte mu kooti

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ennaku sisigadde mbale, okumalako kawefube owennaku 16 ezokulwanyisa obutabanguko mu maka.

Waliwo abantu ssekinoomu abavuddeyo okulwanyisa etteeka lyobufumbo bwobuwangwa oba Customary Marriages Act nga bagamba nti liboola.

Michael Aboneka ne Martins Kirya baddukidde mu kooti ya ssemateeka, nga bemulugunya ku tteeka lino nti lilambika emyaka egitali mirungi eri bantu abayinza okukola obufumbo buno, okugeza ku myaka emito 18 ne 16.

Kino bagamba nti kikontana ne ssemateeka wegwanga, owemyaka 16 abeera muto, abeera tanakula okutegeera kyagendamu.

Bano bayise mu bannamateeka baabwe aba Thomas & Michael Advocates era baliko ensonga endala eziwerako zebalambise zbagala kooti etaputa ssemateeka ezitunulemu.