Amawulire

Eddwaliro lyeryatta omwana wange-bazadde

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

stolen child-2

Eddwaliro lya Case Medical erisangibwa ku luguudo lwa Buganda Road liri mu kattu lwa mwana afa.

Bazadde b’omwana ono Anthony Mutyaba ne Justibe Nassimbwa bakubye eddwaliro lino mu mbuga z’amateeka nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa mu ngeri gyebayita ey’obulagajjavu

Omukyala ono agamba nti yalina olubuto nga lwa myezi mukaaga n’atandika okulumwa era bwatyo yaddusibw amu ddwaliro era abasawo nebamussaako eccupa z’ebisa n’azaala

Abasawo babategeeza nti omwana yali afudde era nebamuzinga mu lugoye nebamutwaala mu ggwanika

Essaawa mu kadde ako zaali kkumi n’emu.

Ekiro ku sssaawa ssatu bakima omulambo gwaabwe okugutwala ekisubi okuziikibwa wabula bagenda okusumulula omulambo ng’omwana mulamu bulungi era ng’akyassa

Omwana ono bamuddusa mu ddwaliro e Kisubi abasawo gyebabategeereza nti omwana mulamu kyokka nga baali tebalina byuma binamuyamba kussa era nebamussa mu ambulance okutuuka mu ddwaliro e Nsambya.

Nga wayiseewo essaawa 18, omwana ono yafiira ku kyuuma weyali assize olw’ekiziyiro

Abazadde bano bagamba nti ssinga tebwaali bulagajjavu bw’abasawo aba Case medical, mutabani waabwe teyandifudde

Bagaala kubaliyiririra obukadde 125 olw’eobulumi bwebayitamu, ensimbi zebamala ensambya, n’ezo zonna zebakozesa mu kuziika

Bagaala n’abasawo abaazinga omwana waabwe nga tannafa bagobwe ku mirimu oba okubonerezebwa.