Amawulire

Eddwaliro lye Mityana teririna ggwanika

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Morturay

Embeera y’eddwaliro lye Mityana yeeralikiriza.

Kizuuliddwa nti  eddwaliro lino teririna  ggwanika nga kati waliwo kasitoowa akatono akatasobola nakugyamu mirambo gisukka 5 mwebagizinzika.

Kasitoowa kano kafunda nyo nga ate temuli byuuma binyogoza , so nga n’akasolya katonnya.

Kati giweze emyezi 2 nga tewali ddagala lyakukuba mu mirambo nga nekikwasa ennaku kwekuba nti akola mu ggwanika lino asasulwa emitwalo mukaaga gyokka buli mweezi.

Bino byonna bizuliddwa ekibinja ky’abakungu b’ebyobulamu n’abamu ku babaka ba palamenti abali mu kulambula okulaba embeera amalwaliro gyegalimu mu ggwanga .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *