Amawulire

Eddembe lyabakozesa yintaneeti likendedde

Eddembe lyabakozesa yintaneeti likendedde

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Okunonyereza okwakoleddwa ku mutendera gwensi yonna, kulaze nti abobuyinza mu mawanga mangi bongedde okuleeta amateeka amakakali ku nkozesa ya yintaneti.

Baatunuliidde engeri gavumenti gyezirondola emikutu muyunga bantu nokukuba abantu ku nsolobotto.

Alipoota gyebatuumu Freedom on the Net 2021, yafulumye oluvanyuma lwokunonyereza okwakoleddwa aba Freedom House, banakyewa abatakabanira eddembe lyobuntu nadala eri abako zesa yintaneti.

Okunonyereza kwakolebwa mu mwaka oguyise nga baatunuliira amawanga 70 wabula 48 nebazuula nga balina amateeka amakakali ku nkozesa ya yintaneti.

Wano mu Uganda, gavumenti yasalako omukutu gwa Facebook, okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde nga byebimu kwebyo ebinokoddwayo ebinyigiriza.