Amawulire

Ebye Katosi Mukono bikyalanda

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Eby’amancoolo mu kuzimba  oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi bikyalanda.

 

Katosi kyeetume

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’okuzimba kaabuse mpaawo kituukiddwako oluvanyuma lwa minisita avunanyizibwa ku by’enguudo  Abraham Byandala obutaba nabiwandiiko biraga engeri obuwumbi 24 gyebwaweebwayo eri abafere abeefuula aba kampuini enkozi y’enguudo okuva mu Amerika.

Omubaka wa Nakifuma, Eng Sekitoleeko Kafeero y’aleese ekiteeso okuggalawo enteeganya zino okutuusa nga Byandaala abalaze alipoota ku pulojekiti eno.

Kati ssentebe w’akakiiko kano  Ephraim Ganshanga asazeewo okuiwandiikira minisita ono okudda ku lwokuna ne alipoota eno olwo abitebye.

Gyebuvuddeko kaliisoliiso wa gavumenti y’alagira abakungu ba minisitule y’ebyenguudo ab’okuntikko bonna bagobwe olw’okufiiriza gavumenti ssente zino.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *