Amawulire

Eby’abatembeeyi bitundiddwa ku nyondo

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

KCCA auctions property

Kampala capital city authority etandise okutunda ku nyondo ebintu byeyawamba okuva ku batembeeyi

Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti basanze obuzibu bw amaanyi okutereka ebintu bino nga y’ensonga lwaki batunze

Kawuju agamba nti basoose kusaba abatwalibwaako ebintu byaabwe okubikima kyokka nebatakikola nga y’ensonga lwaki babitunze

Ebintu ebitundibwa byawambibwa emyezi mukaaga emabega nga muno mwemuli engatto, ensawo, emisipi, amaseppiki n;ebirala

Ensimbi ezinaava mu kutunda ebintu bino zakugenda mu nsawo ya gavumenti

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *