Amawulire

Ebya Sheikh Kamoga ne banne bibi

Ali Mivule

April 4th, 2017

No comments

 

Kkooti enkulu ewozesa emisango gyanaggomola eragidde akulira abatabuliiki ku muzikiti gwe Nakasero nebanne 13  abavunaanibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga okwewozaako ku misango gy’obutemu, obutujju n’okugezaako okutta.

 

Abalamuzi nga bakulembeddwamu munaabwe  Ezekiel Muhanguzi ategezezza nga obujulizi obwaleetebwa abajulizi 36 bwebulumika abantu bano kale nga balina okwewozaako era nebabalagira okudda mu kkooti nga 25 April batendike okwewozaako.

.

Kkooti bano ebategezezza nti dembe lyabwe nabo okuleeta abajulizi mu musango guno .

 

Oludda oluwaabi lurumiriza sheikh Kamoga nebanne okutemula sheikh Mustafa Bahiga mu 2014 ne Sheikh Hassan Kirya mu  2015 wamu n’okugezaako okutta  Sheikh Haruna Jjemba.

 

Bano kati baddiziddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira.