Amawulire

Ebya Bobi Wine tebinaggwa

Ebya Bobi Wine tebinaggwa

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2022

No comments

Bya Ruth Andera

Munnamateeka Hassan Male Mabirizi alabudde nga bwaliko emisango emirala, gyagenda okuggula ku Robert Kyagulanyi Ssentamu, akulembera ekibiina kya NUP olwokuwandisbwa okusoma e Makerere mu bukyamu.

Mabirizi, yasubizza nti agenda kutekayo empaaba ye, olwaleero nga 12 January 2022 mu kooti ye Nakawa.

Kino kyadirira Ssabawaabi wa gavumenti okutwala omusango gweyali yawaaba, ate oluvanyuma nagujjamu enta.

Agamba nti kyali kikyamu Kyagulanyi okuwandibwa ku kusoma kwabakulu mu 2000, atenga yalina emyaka 20 egyali gimusobozesa okuyingira mu kusoma okwa bulijo.