Amawulire

Ebivudde mu kukebera emirambo bifulumye

Ali Mivule

July 17th, 2013

No comments

Namungoona victims

Ebyava mu kukebera obunyama n’omusaayi gw’abantu ababiri abafiira mu muliro gwe Namungoona mu nkola ya DNA bifulumye .

Bano beebamu ku 29  abafirawo mu muliro oluvanyuma lw’ekimotoka ky’amafuta okukwata omuliro  naye nokutuusa kati babadde  bakyabuliddwaako abaabwe.

Omusawo wa police eyekebejja emirambo  Dr Moses Byaruhanga, agamba ebivuddeyo biraga nga abantu ababiri abategeeza nga bwebafiibwako abantu baabwe mu muliro guno, bwekiri ekitufu  nti ddala bano ba nganda zaabwe.

Agamba kati balinze ba nganda bano okudduukirira emirambo gyaabwe oluvanyuma lw’okukakasa nti bebanyini gyo.

Omuwendo gw’abantu abakafira mu muliro guno bali 42 nga 7 bakyagyanjabibwa mu ddwaliro e Mulago.