Amawulire

Ebisale byentambula birinnye ne poliisi erabudde

Ebisale byentambula birinnye ne poliisi erabudde

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2021

No comments

Bya Ritah Kmigisa

Poliisi ewabudde abantu nti bafeeyo nnyo ku mbeera yebyokwerinda, byabwe nga bajaguza ssekukulu.

Bwabadde ayogerako naffe, omukwanaganya wa poliisi nomuntu wabulijjo Assan Kasingye, agambye nti waddenga abakuuma ddembe bakola kyonna ekisoboka okubakuuma naye ebyokwerinda bitandikira ku muntu ssekinoomu.

Kasingye, agambye nti abasirikale era tebasobola kubeera buli wamu, kalenga buli omu asaanye okwefaako.

Ono era asabye abagoba bebidduka okubeera abegendereza, bewale okuvugisa ekimamama okwewala obubenje.

Kasingye agambye nti ebibalo biraga nti abantu bangi abafiira mu bubenje mu kiro kyanga 31 ne 1mu kuyingira omwaka.

mungeri yeemu, ennaku ebula mbale okutuuka ku nnaku ssekukulu.

Wabula ebisale byentambula birinnye, awamu byekubisizaamu emirundi ebiri okuva ku byabulijjo.

Abantu bangi abafuluma ekibuga okweyun ebyalo, okulya ssekukulu nabenganda zaabwe.

Omusasi waffe atuseeko mu bifo ebyenjawulo, nazuula ngebisale byeyongeddemu.

Omwogezi wabagoba bs tskidi ku pssls empya mu Kampala, Abdul Lubega agambye nti okwongezaamu kyavudde ku mafuta agalinnye atenga nabasabaze abagenda mu byalo tebakomawo Kampala.

Amafuta galinnye okutuuka ku 4,900 liita ya petulooli atenga diesel awamu wa 4500 ku masundiro agenjawulo.

Ssabawandiisi wa Uganda Bus Owners Association Robert Mutebi agambye nti bwebatwala abantu mu byalo, bakomyawo emmotoka nkalu.

Kakati ebisale byeyongedde bwebiti:

Okuva e Kampala okudda e Mbarara zeyongeddemu, okuva 30,000 okudda ku mitwalo 40,000

Kampala okudda e Kisoro zivudde ku mitwalo 50,000 okudda ku 80,000

Kampala okuddae e Gulu okuva ku 40,000 okudda 50,000

Masaka okudda e Lyantonde zeyongedde okuva 5,000 okudda 15,000