Amawulire

Ebikujjuko bya ssekukulu mu Kampala South byabadde byamirembe

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu kitundu kya Kampala South benyumiriza, nti ebikujjuko bya ssekukulu byabadde byamirembe, okutwaliza awamu.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu kino Godfrey Achiria agambye nti baafunye akabenje kamu akafiriddemu omuntu e Kajansi obulala tebwabadde bwamaanyi.

Ekitundu kya Kampala Metropolitan South, kirimu divizoni 6 okuli; CPS, Kabalagala, Katwe, Kajansi, Entebbe ne Nsangi.