Amawulire

Ebikolwa ebyókubinika abaana emirimu byeyongedde

Ebikolwa ebyókubinika abaana emirimu byeyongedde

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Minisita omubeezi ow’abazirwanako, avunanyzibwa ku bakadde n’abaliko obulemu Hellen Asamo ategezezza ngekitundu kya Busoga ne Bukedi bwebisingamu ebikolwa byokukozesea abaana emirimu egyibasukako.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire mu Kampala ku bubaka obukulembeddemu olunnaku lwénsi yonna olwókulwanyisa ebikolwa ebyókubinika abaana emirimu olumanyiddwa nga World Day against Child Labor, minisita agambye nti ebibalo by’omwaka oguwedde byatadde Busoga ku 29% ne Bukedi ku 28%.

Alipoota zaabwe oluvanyuma lw’okunonyereza era ziraga nti waaliwo okweyongera, mu biseera bya ssenyiga omukambwe okuva 21% okutuuka ku 36 %, mu bibalo ebyawamu mu ggwanga lyonna.

ate yo alipoota y’ekitongole kyensi yonna ekya International Labor Organization (ILO) eraga nti abaana obukadde 92 wakati wemyaka 5 ne 17 bebakozesebwa mu buddu.

Akubirizza abazadde okutwala abaana ku masomero, nabatalina ssente beyambise okusoma kwa gavumenti okwobwerere.

Emikolo gyegwanga egyolunnaku luno gigenda kukwatibwa ku ssomero lya Bunyonyi P/S mu disitulikiti ye Kabarole, gyakuvugira ku mubala “Universal Social Protection to end child labour”