Amawulire

Ebigezo by’amateeka bibagoyezza

Ali Mivule

May 19th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Abaatudde ebigezo ebibayingiza ettendekero ly’ebyamateeka erya Law Development Centre okufuuka bannamateeka abajjuvu bagudde n’enkoona n’enywa.

Abayizi abasoba mu  2,400  bebatuula ebigezo bino naye 224 bokka bebaabiyise.

Amyuka omuwandiisi w’ettendekero lino ow’ekiseera Charles Ssentogo, ategezezza nti abaayise bagende mu maaso n’okwateegeka batandike okusoma ate abaagudde banonyeyo amassomo amalala.

Wabula agamba bajja kusobola kutwalako abayizi 40 abanasasulirwa gavumenti kw’abo 250 abaliwo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *