Amawulire

Ebigezo bifuluma akadde konna

Ali Mivule

February 25th, 2014

No comments

Fagil mande

Ebya mu bigezo bya s4 omwaka oguwedde bifuluma akadde konna

Abakungu abagenda okubifulumya bamaze okutuuka ku kizimbe kya Satistics house mu Kampala.

Mu batuuse kwekuli omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo, Mathew Bukenya, akikulira Fagil Mande n’abakungu abatali bamu

Abayizi abali eyo mu 295,472 bebatuula ebigezo bino omwaka oguwedde mu massomero 2,888 .

Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ekya UNEB Mathew Bukenya agamba buli kimu kyawedde balinda ssaawa kufulumya bigezo bino.

Agamba nti olunaku abayizi ba s5 lwebanatandika lwakutegezebwa eggwanga amangu ddala.