Amawulire

Ebibuga 9 bisumusidwa

Ebibuga 9 bisumusidwa

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Olukiiko olwa baminisita luliko obubuga 9, bwe basazeewo okusumuusa okudda ku mutendera gw’ebibuga ebinene.

Minisita wa wa gavumenti ez’ebitundu Tom Butime ku bibuga bino kuliko ekibuga kye Arua, Gulu, Jinja, Fort Portal, ne Mbarara nga bino byakutandika okukola nga 1st July 2020.

Ate Hoima ne Mbale by’akutandika okukola nga 1st July 2021 ate Lira ne Entebbe nga 1st July mu 2022.

Tom Butime agamba nti kino kyatukiddwako mu lutuula lwa baminisita olw’abaddewo olunnaku lw’eggulo mu maka ga pulezidenti Entebbe.

Kati ensimbi obuwmbi 130 z’ezigenda okutekebwa ku bbali, bano batandikireko emirimu na byonna eby’etaagisa