Amawulire

Ebibaluwa ebitiisatiisa bikomyewo

Ali Mivule

April 28th, 2017

No comments

 

Abantu 13 bebakwatiddwa mu disitulikiti ye Sembabule lwakumansa bibaluwa bi kiro kitwala omunaku ebitiisatiisa okutta abantu.

Kigambibwa okuba nti bano bebamu ku abatigomya abatuuze mu bitundu ebyenjawulo .

Ebibaluwa ebikwatiddwa kuliko bebagala okulumba na ddi lwebsuubira okubalumba.

Aduumira poliisi ye sembabule  Denis Musinguzi  agamba bano bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo nga era bakyayigga abalala abakyaliira ku nsiko wabula n’asaba bonna okusigala nga bakkakkamu kubanga eby’okwerinda binywezeddwa era bikolebwako bulungi.

Musinguzi agamba abakwate bonna bakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *