Amawulire

Ebbugumu lyey’ongedde mu kuvuganya kubwa sipiika

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kitgum Lillian Aber alaze obwagazi okuvuganya ku kifo kyamyuka sipiika wa palamenti.

Lillian Aber, yatubuliidde nti akabondo kababaka ba palamenti abava mu kitundu kya Acholi baamuwanzeeko eddusu.

Wabula kino tekibadde kituufu, kubanga akabondo kasembye minisita owebibamba nebigwa tebiraze Eng Hillary Onek kubwa Sipiika, omubaka we Bargede-Layibi Ojara Mapenduzi nomubaka omukyala owe Omoro Catherine Lwamaka ku kifokyamyuka sipiika.

Wabula Aber agambye nti betaaga omugigi gwabakulembeze abappya mu bukulembeze bwa palamenti, ngagambye nti alina obusobozi okukirira abavubuka.

Ate omubaka wa Kyaka South omubaka, amyuka Ssabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi naye avuddeyoayagala bwa sipiika.

Ono ajjeeyo empapula ku gwandisizo lya NRM, ngagambye nti yewaddeyo nokulekulira omulimu gwe ngamyuka Ssabawolereza wa gavumenti ssinga olukiiko lwa CEC lunamuwandako eddusu.

Kafuuzi agambye nti Oulanyah abadde mukulembeze asikiriza abakulembeze bangi abamubadde wansi.

Abalala abalaze obwagazi kuliko, amyuka Sipiika wa palamenti Anita Among, omubaka omubaka omukyala owe Tororo Sarah Opendi ne omubaka wa Dokolo South Felix Okoti Ogong.

Ate kikyamu era ssi kyampisa na buntu bulamu, okuvuganya ku kifo kyomuntu eyafudde nga tanaba na kuzikibwa.

Ekifo kyamyuka sipiika wa palamenti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, Mukama gweyajulula ku Sunday mu gwanga lya America.

Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka Peter Muliira, agambye nti kinenyezebwa ku teeka kubanga lyasirika ku mbeera enzibu ngeriwo olwaleero.

Agambye nti ssi kyampisa amyuka sipiika Anita Among okuvuganya kubwa sipiika, atenga akyakutte nekifo kyomumyuka.

Awabudde nti enongosereza zikolebwe mu mateeka mu biseera ebirijja, namyuka sipiika awebwenga obuyinza.

Mungeri yeemu, abekibiina kya DP bagasse ku bantu ababanja alaipoota ejudde obulungi ku kufa kwa Jacob Oulanyah.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire ku kitebbe kyekibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti alipoota eno yenamalwo oluvuvumo ne byonna ebibadde byogerwa ku kufakwe.

Bino webijidde ngabamu ku baulembeze, okwabadde ne taata womugenzi balumiriza nti teyafudde nfa eyabulijjo, yandiba nga bamulunze butwa.