Amawulire

Ebbeyi yamafuta erinnye

Ebbeyi yamafuta erinnye

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ebbeyi yamafuta erinnye, ku masundiro agenjawulo wano mu Kampala.

Liita yamafura yalinnye kankano okutuuka ku 4,450 eya petuliilo atenga diesel awasinga ya 3,999.

Wabaddewo okweyongera kwa nnusu 300 ebya silingi ya Uganda mu wiiki bbiri eziyise.

Absinga kino bakitadde kungeri ssenyiga omukambwe gyeyakodsaamu entambula yamafuta munsi wonna, nekikosa namawanga ga East Africa nga Uganda mwojitwaliidde.

Kinajjukirwa nti ku ntandikwa yomwaka guno, ku masundiro amafuta gaali ku 3,700 negalinnyamu okudda ku 4,150 naddala ku Shell neku Total nga bwegatyo bwegabadde okuva mu April womwaka guno.

Kitunzi ku Vivo Energy nga ye Moses Kebba, bweyabadde atongoza kawefube gwebatandiseeko okusomesa abantu ku oil oba Lubricants yagambye nti okulinnya kwamafuta kivudde ku nsonga oluusi nabo ezabasukkako, okuva ku ntambuza yamafuta.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *