Amawulire

E Masaka bazudde omulambo mu nnyumba

E Masaka bazudde omulambo mu nnyumba

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyanamukaka e Masaka, bwebazudde omulambo gwa mutuuze munaabwe mu nnyumba.

Poliisi etegezezza nti omugenzi ye Donozio Kakooza owemyaka 47 ngabadde abeera bwomu mu nnyumba.

Godfrey Kyabagu nga ye ssentebbe wekyalo, agambye nti omugenzi alabika yafudde walagi gweyanywedde nga mungi.

Kyabagu, agambye nti omulambo tegubaddeeko wadde ekiwundu era tekyekuusa ku butemu bwabijambiya.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganada Muhammad Nsubuga, akakasizza okufa kwomusajja ono, wabula agambye nti bagenda kunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *