Amawulire

E Kyambogo abayizi bagaaniddwa okuyingira ebibiina n’ensawo mu kwewala obutujju

E Kyambogo abayizi bagaaniddwa okuyingira ebibiina n’ensawo mu kwewala obutujju

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Dmali Mukhaye,

Abakulu ku ttendekero e kyambogo baweze abayizi okuyingira mu bibiina ne nsawo wakati mu kwerinda ebikolwa byobutujju.

Kinajjulirwa nti olunaku lweggulo abayizi ba university namattendekero agawaggulu lwe bazze ku masomero oluvanyuma lwómukulembeze weggwanga okubakkiriza okuva mu muggalo ogwajja ne kirwadde kya covid-19.

Mu bbaluwa eyawandikibwa nga 1st November erabiddwako dembe FM avunanyizibwa kunsonga za bayizi ku ttendekero lino, Mildred Tibananuka, agambye nti abayizi tebakkirizibwa kuba na nsawo nga bayingira ebibiina byabwe okwewala abatujju okubeerimbikamu.

Kati abayizi balina kugenda na bitabo byokka mu bibiina.

Bino byatukidwako mu lukiiko lwa bebyokwerinda olwatudde mu ssabiiti ewedde