Amawulire

E Kamuli balonda

Ali Mivule

April 12th, 2017

No comments

W’owulirira bino nga okulonda kw’omubaka wa munisipaali ye Kamuli kugendera ddala mu maaso nga era abalonzi bangi enkoko baagikutte mumwa.

Abantu 5 bebesimbyewo ku kifo kino wabula nga okuvuganya okwamanyi kuli wakatai wamunna NRM Rehema Watongola N’WA fdc  Salaam Musumba.

Okusinziira mu mukwanaganya w’ekibiina ekilwanirira okulonda okwamazima n’enkola ya demokulasiya ekya Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in Uganda ono nga ye Cryspy Kaheru, ewalonderwa wagguddwawo mu budde nga era banji bali mu nyiriri balinda kusuula kalulu kaabwe.

Akulira eby’okulonda mu disitulikiti eno  Gracious Aryaija asabye buli amaliriza okulonda ave webalonderaq agende akole ebirala.