Amawulire

Dr.Stella Nyanzi azizza omuliro

Ali Mivule

April 6th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Munnabyanjigiriza ajjukirwa enyo okweyambula nga akaayanira ofiisi ku yunivasite ye Makerere Dr.Stella Nyanzi  aganye eby’okunyigirwa mu ttooke.

Nyanzi nga ayita mu munnamateekawe  Isaac Ssemakadde ayagala kwewozzako era aganye ebyokumukangavvula ku by’okuvvoola mukomukulembeze w’eggwanga Janet Museveni.

 

Dr. Nyanzi yawumuziddwa okuva ku yunivasite ye Makerere lwakukozesa lulimi luvuma eri mukomukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza nga ayita ku mutimbagano gwa yintaneti ogwa muyunga bantu ogwa Facebook.

Nyanzi azze atabukira mukyala Museveni olwokutegeeza palamenti nga gavumenti bwetalina nsimbi zigulira bawala mu pulayimale pad nga bali mu nsonga zaabwe ez’ekikyala sso nga pulezidenti Museveni bweyali anoonya akalulu yabasuubiza.

 

Kaakati bannamateeka ba Nyanzi nabo bazizza omuliro nebawandiikirira yunivasite ye Makerere nga bawkanya emisango egyaguddwa ku Muntu waabwe nebategeeza nti sembe lye okweyogerera.

 

Bannamateeka bano kati balagidde yunivasite esazeemu mangu ebyokukangavvula Stella Nyanzi.